Abaawanguddwa mu kamyufu E Jinja ne Luweero ssi basanyufu
Wabaddewo okwekalakaasa mu kibuga Jinja, nga abawagizi b'omu ku baavuganyizza mu kamyufu ka NRM naagwa balaga obutali bumativu ku ngeri akalulu gye kaakwatiiddwamu. Bano babadde bakalaakala n'ekiwandiiko kyebawandiikidde akalulira ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi nga bamusaba ebyabadde mu Jinja West abijungulule. E Luweero bbo abaawanguddwa basazeemu okwekumaakuma bakungaanye okulaba kye bayinza okuzzaako.