Tetugenda kuddamu kwebulankanya: Abasawo ku busawamanze H | C III beetondedde abatuuze
Abatuuze b'e Manze e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde abasawo ku ddwaliro lya Busamanze H/c III nga babalumiriza okusuulawo eddwaliro nabo ekyabaviirako okulyesamba.
Kino kidiridde abakulembeze ku disitulikiti e Wakiso okufuna okwemulugunya kuno nga eddwaliro bweritalina basawo nebayita okulung’aana lwabatuuze okugonjoola ekizibu kino.
Gyebigweredde nga abasawo bakkiriza ensobi zaabwe nebalabulwa ku ky’okwebulankanya ku mirimu.