Omujjuzo gw’emisango e Masaka, kkooti etandise okukola ku bakkirizza emisango gyabwe
Abasibe mu kkomera e Masaka ssi basanyufu n'abasirikale ba Poliisi abanoonyereza ku misango gyabwe bebagamba nti enkola gyebakolamu emirimu ya kibogwe.Bino babitegeezezza akulira abalamuzi ba kooti mu ggwanga Jane Okuo Kajuga bwabadde agenzeeko mu kkomera e Masaka okutongoza enkola y'abasibe okukkiriza emisango olwo baweebwe ebibonerezo ebisamuusamu oba Plea Bargain session.