‘Tab’ ezaakozesebwa okubala abantu, UBOS eziwaddeyo eri amatendekero n’obukulembeze bw’ennono
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo ki Uganda Bureau of Statistics kiwadeyo taabu ziyite Computer Tablets zonna ze kyakozesa mukubala abantu okuwedde eri amasomero kumutendera ogawaggulu kwosa n’obukulembeze obwennono.Obwakabaka bwa Buganda, n'Obw’aKyabazinga bwa Busoga bwe bumu kubuganyuddwa munteekateeka eno. Omukolo gwokuwaayo taabu zino guyindidde ku kitebe ky'ekitongole kino wano mu Kampala.