Abeegwanyiza ekya ssentebe wa NRM bazziddwayo
Akakiiko k’ebyokulonda aka NRM leero kasunsudde Chris Baryomunsi ne Godfrey Kiwanda okwetaba mu Kulonda kwekibina ku bifo mu lukiiiko olufuzi olwa NRM oba CEC. Bano basusunddwa ng'okusunsula okutongole okwabeegwanyiza ebifo ku lukiiko olukulu olwa CEC tekunnatuuka kubanga balina emirimu emitongole gye bagendako. Waliwo abantu babiri abeesowoddeyo okuvuganya ku kifo kya Ssentebe w'ekiibina kino, wabula akakiiko kabasabye bakomewo ku lwokutaano lwa wiiki eno.