Aba PFF baggyeyo empapula, NUP eyanjudde eyeesimbye ku Among
Wakati mu buggumu nga bannakibiina ki PFF bajjayo empapula okwatira ekibiina bendera ku bifo eby’enjawulo mu kalulu ka 2026, abakulu mu PFF balangiridde nti baakutongoza obukulembeze bw’ekibiina obw’okuntiko Sabiiti eggya mu ttabamiruka w'ekibiina.NUP yo eyanjudde omuntu gw'egenda okusimbawo okusiguukulula sipiika Anita Among ku ky'omubaka omukyala owa Bukedea.