Embalirira y’eggwanga, akakiiko k’obwenkanya: lwaki temwebuuza ku bannayuganda
Akakiiko k'obwenkanya ka Equal Opportunity Commission kakukkulumidde gavumenti bulijjo okufulumyanga embalirira nga tebamaze kwebuuza Ku Bannayuganda abamu ekiviirako bangi okulekebwa ebbali nga tebaganyuddwa mu nteekateeka eno.Okwogera bino babadde basisinkanye abantu abakwatibwako mu biti eby'enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi eyayisiddwa eya 2026-2027.Bano era bakoonye ne ku musolo omungi ogubinikibwa bannayuganda ku bintu eby'enjawulo ngaate obuweereza obubaweebwa nabwo tebumatiza.