Yiino emboozi ya Sr. Patricia Tendo akola obwa yingiyiya
Kimanyiddwa nti aba sisita batera kubeera ku bigo eyo nga basaba, okwegayirira n'okukola emirimu emirala egitaawukana nnyo kw'egyo Ekelezia gy'eweereza abantu.Wabula ye Reverend Sister Patricia Tendo ow'ekigo ky'aba St Francis of Asis, wanjawulo, kubanga obukugu era obuweereza bwe abukola nga Yinginiya. Ono yenyigidde mu kuzimba ebizimbe eby'ebbeeyi era ebinene ddala mu Kelezia mu kibuga Soroti era nga kati y'omu ku ba Yinginiya abeenyumirizibwamu mu kitundu.Twogeddeko n'omusisita ono, okwagala okutegeera ye ekyamusazisaawo okutambula nga atunudde mu kkubo eryawuufu ku basisita banne abasigadde.