Tetubalaba ewaffe: Ab'eMenvu - Busukuma beewera ku baagala okuleeta kasasiro
Abatuuze b’e Menvu mu gombolola y’e Busukuma mu munisipaali y’e Nansana berayiride nga bwebatagenda kukiriza motoka za KCCA kuleeta kasasiro mu kitundu kyabwe.Kidiride abakulembeze ba KCCA okutegeeza olunaku lw’eggulo nga bwebagenda okweyambisa ettaka lino okutandika okuyiwayo kasasiro oluvanyuma lw’okugobwa e Ddundu KCCA gyeyali yagula ettaka.Bagamba nti waliwo ebyali byakiriziganyizibwako ne munisipaali y’e Nansana kwosa Kira abaagula ettaka lino wabula nga bibadde tebinnaba kutuukirizibwa.