Omusumba ayiggibwa e Nakasongola avunaanibwa gwa kusobya ku mwana
Mu disitulikiti y’e Nakasongola eriyo abazadde abalumirizza omusumba w’ekanisa ya Rock of Salvation and Healing Ministries e Kageri okusobya ku muwala waabwe n’amufunyisa olubuto. Bano bagamba nti omusumba ono Henry Bogere Bisoboka gwebalinako oluganda, yabasaba muwala waabwe natandika okubeera naye oluvanyuma lwa mukazi we okunoba ng’ayagala amuyambeko ku mirimu. Poliisi ekakasizza nga ensonga bwezimanyiiko era nga yatandise dda omuyiggo gwe.