OKUTIMBA EBIPANDE MU KAMPALA: Lukwago ayanukudde minisita Namugwanya
Loodimeeya wa Kampala ayanukudde minisita wa Kampala ku mateeka geyayisizza ku kyokutimba ebifaananyi bwabannabyabufuzi mu Kampala kko n’okuyisa ebizindaalo ebiwoggana mu Kampala.
Lukwago agamba nti guno ssi mulimu gwe nga minisita wa Kampala agulekere akakiiko k’eby’okulonda akalambika eby’okulonda bwebirina okutambuzibwa.