OKULWANYISA OBUJAMA E MUKONO: Bafunye kampuni z'obwanannyini eziyoola kasasiro
Ab’obuyinza mu kibuga ky’e Mukono baliko kampuni z’obwananyini ssatu zebasse nazo omukago okubakwatizeeko mu kuyoola kasasiro.
Kampuni zino kuliko eya D-Weste, Bins Kampala ne Namakya, wabula nga zino zakusaba ng’akasimbi akasamusaamu okuva mu batuuze nga tebanatwala kasasiro waabwe.