OKULWANYISA ENGUZI MU KCCA: Kaliisoliiso wa Gav't asisinkanye bakulembeze
Kaliisoliiso wa gavumenti Betti Kamya asisinkanye abadukanya ekibuga Kampala nebakaanya okukwatagana mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi ekyafumbekedde mu kitongole kino.
Loodi Meeya Erias Lukwago amutegeezeza ku ngeri ensimbi z’omuwi w’omusolo gyezidibagidwamu mu kitongole kino, nga n’abamu ku bakungu bagagawadde mu ngeri eyewunyisa.
Kamya mu bwangu ddala atonzewwo akakiiko akagenda okunoonyereza ku nguzi mu kitongole kino.