Okugema ebisolo Kalusu; kifuuse kya buwaze eri abalunzi
Gavumenti efulumiza ebiragiro eri abalunzi b’ebisolo bonna nga kati bwekiri eky’obuwaze okugema ebisolo ebisolo byabwe.
Kino kigendereddwamu kulwanyisa kirwadde ki Kalusu, nga ekisolo kirina okugemebwa emirundi ebiri buli mwaka. Minisita w’obulunzi n’amagana Bright Rwamirama agamba abalunzi kijja kubetaagisa okusasulayoko ku kasente akasaamusaamu.