Omusomesa asingisiddwa emisango gy'okukabasanya n'okkukusa abaana 6
Kkooti enkulu mu Kampala eriko omusomesa gw'esingissiza emisango gy'okukabasanya n'okkukusa abaana mukaaga nga bali wakati wemyaka 15 - 17 nga abasuubiza okubawerera . Okusinziira ku Ludda oluwaabi omusomesa ono Junior Tukwasibwe yasooka kukaka bawala bano okumira obuweke obuziyiza okufuna embuto. Ono kkooti yakumusalira ekiboerezo ku lwokubiri lwa wiiki ejja Ebyo nga bikyali awo Kkooti ye Makindye esindise saveya wa disitulikiti ye Butambala ku alaimnda e Luzira ng'emulanga kwezibika nsimbi obukadde 46 mulukujukuuju nga akozesa erinnya lya ofiisi ye