Kkooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyawebwa eyatta omuyimbi Mozey Radio
Kkooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 12 mu nkomyo, Kkooti enkulu kye yawa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy mu musango gw'okutta omuyimbi Moses Ssekibogo amanyiddwa nga Mozey Radio mu mwaka gwa 2018Wamala yaddukira mu kkooti eno ngayala eddirize ku kibonerezo ekyamuweebwa ky’agamba kyali kikakali nnyo bwogerageranya ku musango gweyasingisibwa ogwokugezaako okutta Abalamuzi ba kkooti eno okuli Christopher Gashirabake, Asa Mugenyi ne John Mike Musisi bagobye okusaba kwa Wamala nga bagamba nti obujulizi obwaleetebwa mu kkooti bumala okumusingisa omusango gw’okuzaako okuttaAbalamuzi bano era basinzidde ku biwundu ebyamaanyi ku mutwe ebyaviirako omugenzi okufa, okuwakanya eky’okukendeereza Wamala ku kibonerezo Nti Wamala ono okumanya naye yali akimanyi nti gumusinga, yatuuka n’okubulawo nasooka yeekweka nga kyajje azze omusango nga singa yali amanyi nti tegumusinga teri kyali kimuddusaaObujulizi bulaga nti nga 22 omwe gwa Jaunary omwaka 2018, Mozey Radio omu ku batandisi ba GoodLyfe yafuna ebisago ebyamaanyi ku mutwe oluvannyuma lwa Wamala okumunyugunya ku ttaka mu kulwanagana okwali ku kifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga De Bar mu bitundu bye Ntebe Ebisago bino byamuviirako okutwalibwa mu malwaliro agenjawulo okufuna obujjanjabi okutuusa lwe yafiira ku lya Case nga lumu omwezi gw’okubiri omwaka 2018Abalamuzi bategeezezza nga Wamala bwalina eddembe okwekubira enduulu mu kkooti ensukkulumu bwaba nga tamatidde na byabwe