ZUNGULU: Ebibiina by'obufuzi biri busy era buli kitebe ky'oyitako empapula ziyitingana
Wiiki eno yonna, ebibiina by'obufuzi biri busy, era buli kitebe ky'oyitako, empapula ziyitingana. Kyokka ebyabadde mu kulonda kw'abavubuka ku byalo kuleese ebibuuzo ebisesa na ddala nga waliwo abataamatidde abalumiriza nti ababala, baababaze bababuuka. Mulimu n'abaagobeddwa olw'obutaba nabuyigirize, nebafuluma ebitebe nga beewera okudda mu part two. Byonna mu Zungulu.