OBUBBI: E Mityana abavubuka 2 bakwatiddwa
Poliisi e Mityana eriko abavubuka beekutte, ababadde beegulidde erinnya mu kunyaga ebintu by’abantu naddala eby’omunju. Bano okukwatibwa Poliisi ko n’abakulembeze mu kitundu basoose kugumba mu bifo ebyenjawulo e Mityana, mu budde obw’ekiro okubaketta. Mu kaseera ako waliwo abavubuka abazze bakaalakaala ne TV, era okukwatibwa Poliisi neebaragira okubatwala gyebasula nga eno gyebagwiridde ku bintu by’omunju ebiwera nga byonna biteeberezebwa okuba nga bibbe.