Erias Lukwago agamba abasuubuzi b'okunguudo e Kawempe baakusalirwa amagezi
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ategeezeza nga bwebagenda okukwatagana n’abakulembeze b’omubitundu okulaba nga basalira abakolera ku nguudo amagezi. Lukwago agamba, bakunoonyayo enguudo ezitaalimu kayisanyo kaamanyi ziweebwe abatembeeyi bakolereko, kino kidiridde abatembeeyi okugobaganyizibwa ku nguudo mu divison y’e Kawempe.