EBIGEZO BYA S4 : Babano basajja bakulu abaaguma nebadda mu bitabo
E Kanungu musajja mukulu ow’emyaka 53 y’omu kwabo abatudde ebigezo bya siniya ey’okuna ebitandise olunaku lwa leero, ono mukiseera kino kansala naye nga ebimu kubyamuzaayo okusoma kwekuba n’ekirowoozo ekivuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti. E Kasese nayo Nathan maghulhu ow’emyaka 48 naye atudde ekigezo kye ekisoose eky’okubala wadde nga ategeezeza nga bwekitabadde kyangu. N’e Kibuku nayo Moses Mboiz ow’emyaka 36 naye atudde ebigezo bino okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Katubalabe nga abasasi baffe bwebabatukung’aanyiriza mu bitundu byabwe.