Ab’ebyokwerinda balemesezza olukungaana lwa NUP olubadde lutegekeddwa okwogera ku Eddie Mutwe
Ab’ebyokwerinda okuli poliisi n’amagye balemesezza olukungaana lwa NUP olubadde lutegekeddwa ku kitebe ky’ekibiina okwogera ku nsonga y’omu ku bayambi ba pulezidenti w’ekibiina, Robert Kyagulanyi Ssentamu, Eddy Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe eyawambibwa. Kiddiridde ekifaananyi ky’ono okulabikira ku mutimbagano gwa Gen. Muhoozi Kainerugaba ng’alaga ng’ono bweyasaliddwako enviiri ssaako n’ekirevu oluvannyuma lw’okumala ebbanga lya nnaku ttaano nga tamanyiddwako mayitire. Okusinziira ku bakulembeze mu NUP munnaabwe ono yakwatibwa abasajja abateeberezebwa okuba ab’ebyokwerinda abaamuwambira mu bitundu eby’emukono.