Eddembe ly’ab'amawulire: alipoota egamba ab’ebyokwerinda be basinze okulirinnyirira
Ebitongole by'eby'okwerinda bye bimu ku bisinze okulemesa banamawulire okukola omulimu gwabwe, okusinziira ku alipoota efulumizibwa ekitongole ki Human Rights Network for Journalists, ekirwaniriria eddembe lya bannamawulire. Omwaka 2024 okusinziira ku alipoota eno, gwe gwasingamu ebikolobero ku bannamawulire era ng'emisango egiwera 110 gye gyawandiisibwa.