Abazirakisa badduukiridde nnamukadde akuba amatofaali e Kagoma
Gyebuvuddeko waliwo omukyala Nnalongo Rose Kalule omutuuze w'e Kagoma gwetwakulaga nga akuba amatofaali okusobola okubezaawo abantu be baalabirira. Kyoka omukyala ono twamusanga asula ku tebukye, nga waliwo beyeewolako ensimbi atwale mutabani we ebweru akole baagala kutwala kibanja kye. Kakati waliwo abazira kisa abaalabye emboozi eno abamuduukiridde n'obuyambi, kko n'okumusasulira ku banja ly'ensimbi zeyeewola okutwala mutabani we ebweru.