Amateeka ku kugema: Omayi okw'obuwaze n'okutali
Ku ntandikwa ya ssabiiti ewedde minisitule ye by’obulamu yatandika ekiwendo ky’okugema omusujja gw’enkaka mu district 51 ng’etandika na baana ba masomero.
Eky’ennaku abamu ku bakkulira amasomero kko n’abazadde entekateeka eno bakyagigaanyi nga bagambe beekengera eddagala erikozesebwa newankubadde bazza bategeezebwa nti okugema kuno kwa buwaze.
Kati mu Kanyomero ka Manya amateeka - Prisca Namulema ayogedeko ne bannamateeka okumanya ddi okugema lwekuyinza okufuuka okw’obuwaze ,oba okwa kyeyagalire.