Abasomesa ba yunivasite nabo bawaga kwekalakaasa
Abasomesa ba mu yunivasita za Gavumenti zonna bawadde Gavumenti nsalesale w'okubongeza omusaala mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogutandika omwezi ogugya ng'ekitali ekyo nabo ba kwekalakaasa. Bano bagamba baali basuubira ensimbi z'okubongeza omusaala zirisomebwa wabula kyababukako nga bbo tebakooneddwako. Omwogezi wa minisitule y'ebyenjigiriza Dr. Dennis Mujimba bano abasabye baleme kusa wansi bikola kubanga embalirira yamala okusomebwa nga ensonga yabwe yaakukolebwako mu myaka egijja.