Abalamazi abali bakwamidde ku Katonga babateleddeko olutindo
Kyadaaki abalamazi abasoma mu 100 abaali bakonkomalidde ku lutindo lwe Katonga basomose okwolekera lubatuusa e Namugongo.
Abalamazi bano abaava e Mbarara ne Isingiro baali bagumbye ku mugga Katonga nga balayidde obutadda mabega olw'olugendo oluwanvu lwebaali balina okuddamu okutambula.
Kati bano ekya leero bateredwawo akatindo akekyenyeeje kwebayise okusomoka.