ABA TAKISI E MASAKA : Ab'ebyokwerinda balangiridde ssentebe omuggya
Oluvanyuma lw’abagoba ba taxi okulemererwa okumaliriza okulonda kwabwe ku kifo ky’obwessentebe e Masaka nebagwang’ana mu malaka olwaleero akakiiko k’eby’okwerinda kasazeewo nekalangirira ssentebe wa ba taxi e Masaka.
Okusalawo kuno kukoleddwa oluvanyuma lw’okusisinkana enjuyi zombi eza bataxi ezigugulana.
Wabula aba taxi abamu bategeezeza nga bwebatagenda ku kkiririza mwebyo ebirangiriddwa ab’eby’okwerinda.