ZUNGULU:Ba malaaya bayisizza ekirango ng'omulimu gwabwe bwe batagenda kuguyimiriza lwa MPOX
Ba malaaya abeeyita ba neekolera gyange, bayisizza ekirango ng'omulimu gwabwe bwe batagenda kuguyimiriza mbu ekirwadde ki Mpox kisooke kiggweyo. Bano basabye gavumenti yo ebayiiyize engeri gye basobola okubegeramu ba kasiitoma baabwe emmere ng'emibiri tegisisinkanye. Ogenda na kulaba president wa DP Norbert Mao nga yewaana okuba ne supper glue agenda okugatta eggwanga lino. Zungulu.