Waliwo abalumbye ekyalo e Kawanda ne balumya abatuuze, baliko bye babbye
Abatuuze basatu be balumiziddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa Abazigu ababadde babagalidde ebijambiya ku batuuze abali ku kyalo Kaayi ekisangibwa e Kawanda mu gombolola y’e Nabweru. Abatuuze bagamba nti ebintu byabwe eby’omunju bingi bibbiddwa mu bulumbaganyi buno. Poliisi etandise okunoonyereza.