Umar Magala atangaazizza ku by’okuva mu lw’okuwano lw’okukwatira NUP bendera ku bwa meeya wa Kawempe
Umar Magala atangaazizza ku by’okuva mu lw’okuwano lw’okukwatira ekibiina ki NUP bendera okuvuganya ku kifo kya meeya w’eggombolola y’e Kawempe nga kati obwanga abwolekezza kifo kya kansala akiikirira Kawempe North ku lukiiko lwa KCCA oluddukanya ekibuga Kampala. Magala ajjukirwa nnyo mukuvuganya okwakaasa mmeeme kweyateekawo ngayagala kaadi y'ekibiina ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North ekyawangulwa Erias Luyimbaazi Nalukoola era n’akkiriza okumulekera.