SSENTE Z’OKUTEGEKA E NAMUGONGO: Waliwo ababaka abagala ez’abasiraamu ziweebwe ab’omuzigiti
Ensonga y'obuwumbi obusatu obulina okuwebwa bannaddini okuteegeka emikolo gy'abajjulizi e Namugongo etabudde abamu ku babaka.Waliwo ababaka abagaba nti ssente ezirina okuweebwa abasiraamu zigende butereevu eri abakulu ku muzigiti gwe Namugongo sso ssi ku bakulembeze b'obusiraamu ku kitebe ky'e Kampala mukadde .Bino bibaddewo nga akakiiko ka palamenti ak'embalirira kasisinkana abakulu mu gavumenti okunyonyola lwaki bagala enyonyogereza ya buwumbi obusuka mu lukumi mu mwaka gwebyensimbi guno gwetulimu.