PPAAKA BAGIRINAKO LIIZI YA MYAKA 99: Lukwago ne ba kkansala beewuunya liizi endala gyeyava
Olukiiko lwaba Kansala ba KCCA olukulembeddwamu loodi meeya Erias Lukwago luyisizza ekiteeso, KCCA okwezza poloti zonna ku ttaka lya paaka enkadde okuli n’ezaabadde zitwaliddwa abamu ku bagagga nga bazitaddemu nemisanvu. Olukiiko lwerumu luyisizza ekiteeso bano obutaliyirirwa wadde omunwe gwennusu kubanga ettaka lino KCCA eririnako liizi ya myaka 99 nga baakatambulako 22 gyokka. Wabula bbo abamu ku bannanyini poloti zino ezoogerwako balumiriza KCCA okumenya endagaano gyebaakola nabo netuuka n'okusolooza ssente mu poloti zebeegulira.