OMWANA EYABULA: Abazadde bamuzudde wayise emyezi ebiri
Omwana ow'emyaka e kkumi n'ogumu eyali yabula emyezi ebiri nga twamukulagako mu mboozi nga 28 ogw'okusatu amaze nazuuka. Ono nga bazadde be babeera mu kitundu kye Wamala Nansana yalondebwa abazira kisa e Muyenga natwalibwa mu kifo ekirabirira n'okubadaabuda abaana abavudde ku nguudo ki dwelling places e Buloba. Bano bebasobodde okumutuusa ku bazadde be ku lwokubiri lwa wiiki eno.