Omwana agambibwa okutwali mukoka: Maama we aliko poliisi byayagala ebuuliriza
Fiona Namugenyi maama w’omwana Shanita Nabbagala eyabula gyebuvuddeko atandisse okubuusabusa nti ddala omwana we yagwa mu mwala n’afa. Kino kidiridde abantu ku kyalo Bulabira e Najeera gyawangalira okutandika okukyusakyusa mwebyo bye bayogera ku ntandikwa nga bwe balaba omwana ono Nabbagala ng’agwa mu mwala oguyita mu kyalo kino era amazzi ne gamutwala. Namugenyi kati ayagala poliisi eddemu buto okunoonyereza okuzuula ekituufu ku mayitire g'omwana we.