Omusajja atemyetemye mukazi we n’amutta, yeewadde obutwa
E Kyegegwa waliwo ssemaka atemyetemye mukazi we namutta ng'entabwe evudde ku kyakumugaana kutunda kibanja kwebali. Ono nga ye Johnson Byamugisha naye amaze neyeewa obutwa wabula abatuuze bamuddusizza mu ddwaliro gyali mu kufuna obujjanjabi. Muwala w'ababiri bano naye asimattukidde watono okuttibwa bwabadde ataasa nnyina.