Omubaka Cissy Namujju:Ab’e Lwengo bawanjagidde Museveni amuddiremu
Banna Lwengo mu bbendobendo lya Masaka balaajanidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asonyiwe omubaka waabwe Cissy Namujju eyakwatibwa jjuuzi ku misango egyekuusa ku buli bw’enguzi. Banno okusaba bakuyisizza mu Ssaabaminisita Robinah Nabbanja bw’abadde abasisinkanye ku kitebe kya disitulikiti y’e Lwengo nga bateekateeka omwoleeso gw’ebyobulimi ogugenda okubeerawo nga 28 omwezi guno.