OLUTINDO LW’E KATONGA :Abalamazi bateereddwawo we bayita
Kyaddaaki abalamazi ababadde bakonkomalidde mu Katonga bamaze nebakkirizibwa okusala okweyongerayo oluvannyuma lwokubaterawo olutindo olwekiseera. Olunaku lweggulo twakulaze abalamazi nga bagumbye mu Katonga nga bagamba nti bbo bali tebaamanya nti olutindo lwagwamu. Webutukidde saawa emu ez’okumakya nga batandise okusala.