OLUNAKU LW’ABAAGALANA: Waliwo emigogo munaana egigattiddwa leero
Emigogo gy’abagole 8 gye gigattiddwa ku lunaku lw’abaagalana ku Uganda Registration Services Bureau. Mu bano, mubaddemu ne Munnayuganda awasizza munnansi wa Poland ng’abazadde tebamanyi. Abakulira okugatta okw’ekika kino bategeezezza nga bwe kuwa emirembe era kwongedde okwettanirwa nga buli lunaku ekitongole okutwaliza awamu kigatta emigogo gy’abagole egiri wakati wa 8 ne 11.