OKWETEGEKERA OMUPIIRA GW’ABAKAZI: Omutendesi ayungudde abazannyi amakumi ana
Omutendesi wa tiimu y'eggwanga ey'omupiira gwa bakazi George Lutalo alangiridde abazannyi amakumi ana mu musanvu abageda okutandika okutendekebwa n'oluvanyuma alondemu tiimu enekikirira eggwanga mu mpaka za CECAFA wamu ne finolo y'empaka z'ekikopo kya Africa. Empaka za CECAFA ez'omwaka guno zakubeera enjeru ku kitebe kya FUFA ekyebyekikugu mu mwezi gw'omukaaga n'oluvanyuma Uganda yetabe mu mpaka z'ekikopo kya Africa ezabakazi ezigenda okubera mu ggwanga lya Morroco mu mwezi gw'omusanvu.