OKUYITIRA WAGGULU EBIGEZO: Waliwo abalabudde ku kazito akateekebwa ku baana
Eggulo twakulaze Dafin Kimuli ow’e Hoima eyeetuze olw’abamu ku bantu be yalesse alumirizza okuyeeya nti yakoze bubi mu bigezo bya PLE. Omu ku baabadde bayeeya omwana ono wa kumuliraano. Eriyo abantu bangi abakyalemeddemu okukulembeze eky’obubonero obw’awaggulu nti bwe bulaga ng’omuyizi bw’alina emikisa emitangaavu mu by’enjigiriza. Okufuna obubonero obwo kirungi naye okukikulembeza kirimu ebizibu bingi