OKUWAKANYA ETTEEKA KU BISIYAGA: Kkooti etaputa amatteeka enkya esalawo eggoye
Kkooti etaputa amateeka olunaku lwenkya lwegenda okuwa ensala yaayo ku musango abalwanirira eddembe ly'abebisiyaga n'abasiyazi gwebaatwala mu kkooti nga baagala etteeka eryayisibwa palamenti erivunaana abenyigira mumuze guno lisazibwemu.Okusinziira ku kumanyisbwa okuweerezeddwa enjuyi zombi , okuli kampuni z'abannamatteeka 11 eziwolereza ab’ebisiyaga saako ssaabawolereza wa gavumenti, ensalawo ya kkooti egenda kusomwa ku ssaawa nnya ez'enkya.