OKUVUGANYA KU BWA PULEZIDENTI: Bobi Wine asunsulwa nga 3 November
Ab’ekibiina ki National Unity Platform batubuulidde nti omuntu waabwe Robert Kyagulanyi wa kwewandiisa okuvuganya ku kifo kya Pulezidenti nga ennaku z’omwezi 3 omwezi ogujja, ow’e kkumi n’ogumu. Abakulu mu kibiina kino era basabye ab’eby’okwerinda abaawamba ebyambalo byabwe wiiki ewedde nti ngeri gye babiwamba nga bagamba by’amagye, kati batandike nabo batandike okubyambala n’obubonero bw’ekibiina obuliko.