Okusaba eky'ojamumiro, ssentebe w’e Mpigi n’abalala babiri basimbiddwa mu kkooti
Ssentebe wa disitulikiti y'e Mpigi Martine Ssejemba, kkooti esookerwako e Mpigi emusindise ku alimanda e Kitalya oluvannyuma lw'okumusomera emisango egyekuusa ku buli bwenguzi. Ssejjemba wamu n'abakulu babiri ku kakiiko ka disitulikiti eno akagaba emirimu, bagambibwa okuba nga baasaba ekyojamumiro kya bukadde 20 okuva eri abaali baagala emirimu.