OKUNOONYEREZA KU MIVUYO MU NSSF: Omubaka Mwine Mpaka yaakuliddemu akakiiko
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alonze akakiiko k'abantu musanvu akagenda okunoonyereza ku migozoobano egiri mu kitongole ky'ekittavvu ky'abakozi ekya NSSF. Mu byebagenda okussaako essira mwemuli obuli bw'enguzi , saako ebigambibwa nti ekitongole kino kibadde kiddukanyizibwa bubi abadde akikulira Richard Byarugaba.