OKULWANYSIA ENGUZI : Eggwanga liwongeddwa eri Katonda
Ekitongole kya Kalisoliiso wa Gavumenti kifulumiza enteekateeka eyokulwanyisa enguzi eyomwaka 2022/2023 nga eno amakada yakugasimbira ddala wansi mu bantu , nabo babe kitundu kubayambako mu kulwanyisa omuze guno .Bino bibadde mu kusaba ku kisaawe e Kololo omutonzi naye ayambe eggwanga mu katyabaga kano akenguzi mweliri . Okusinziira ku amyuka sipiika Thomas Tayebwa agambye nti okulwanyisa enguzi simulimu mutene kubanga abagirya bamaanyi nnyo okisinga abo ababalwanyisa.