Okulonda akamyufu ka NRM, mu Kampala kutambudde kinawadda
Enkya ya leero bannakibiina ki NRM abatuuse emyaka egironda bonna bakedde kwetaba mu kamyufu k'ekibiina okusalawo abagwana okukwatira ekibiina bendera mu kulonda okujja okwa 2026. Wano mu Kampala tukitegedde nti okulonda tekujjumbiddwa,songa mu bifo ebisinga okulonda kutandise kikeerezi.Kyoka abatwala eby’okulonda batugambye nti okulonda kwonna kubadde kwa mirembe.