Ez’amasomero ga siniya, USSSA etandise okwetegekera ez’okuwuga ez’eggwanga
Oluvannyuma lw'empaka z'amasomero ga siniya ezimanyiddwa ennyo nga Ball games 2 okukomekkerezebwa olunaku lw'eggulo e Tororo, ekibiina ekitwala emizannyo gy'amasomero mu ggwanga ekya USSSA kati kibakanye ne kaweefube w'okutegeka omuzannyo gw'okuwuga, National swimming gala.Okuwuga kuno kwe kusigaddeyo okusalawo omuwendo gw'amasomero omutuufu agagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za FEASSA ezigenda okubeera e Kenya gye bujja