Ebintu bya bukadde bitokomose omuliro e Mityana, abasuubuzi bali mu maziga
Abasuubuzi mu tawuni ye Mityana bali mu maziga olw'emmaali yaabwe etokomokedde mu muliro ogwakutte amaduuka gaabwe mu kiro ekikeesezza leero . Abasuubuzi bano banenya poliisi okutuuka ekikeerezi ng'ebintu byabwe bimaze okusaanawo . Ekyavuddeko omuliro guno kikyatankanibwa yadde nga kiteeberezebwa nti mazannyalaze ge gaazadde ebitukula .