NAZZIKUNO: Ebikwata ku mulimu gw’obuweesi ogwakolwanga edda
Okuweesa mu Buganda mulimu gwa dda nnyo, era nga bajjaja ffe binyumizibwa nti baguyigira mu Banyoro be baleetanga kuno okubakolera emirimu kikula kityo.Kyokka ate bbo baagwongeramu obuyiiya n'ebirungo, era negulongokera ddala, nga wano n'okugaziya Buganda kyaanguwa kubanga baatandika okuweesa ebyokulwanyisa nga amafumu n'obusaale ebyabasobozesa okutabaala abalabe.Kyokka mu kyasa kino, omulimu guno guseebengeredde nnyo olw'abantu okwettanira empeesa ey'ekizungu nga n'okusanga awali essasa oba eggweseezo, nakyo si kyangu.RONALD SENVUMA alina weyasanze abakyaweesa era alina byeyakunganyizaayo nga by'atuleetedde olwaleero mu Kanyomero kaffe aka NAZZIKUNO.