OKUKWASISA EBIRAGIRO BYA COVID: Ow’e Kajjansi alumiriza poliisi okumutuluganya
Ku kyalo Nsaggu, mu town council y'e Kajjansi, mu Wakiso, eriyo omutuuze alumiriza aba poliisi y'e Nsaggu okumutulugunya ne bamuleka ku bisago nga bamulanga okutambula mu budde obwa kaafiyu. W'olabira bino, nga Godfrey Jemba n'okutambula takyasobola olw'obulumi bw'alimu. Kati ky'asinga okwetaaga kati be baserikale abaamutulugunya okukwatibwa bavunaanibwe naye afune obwenkanya.